Revelation of John 22

Omugga ogw’Obulamu

1 aAwo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, 2 bnga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. 3 cMu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, 4 dera banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. 5 eTeribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. 6 fAwo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

7 g “Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

8 hNze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; 9 ikyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 jAwo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 kEra ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

12 l “Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 mNze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

14 n “Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 oEbweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

16 p “Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

17 qOmwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

18 rNtegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 sEra omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 tOyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

21 uEkisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Copyright information for LugEEEE